Engero 6 (EEEE)

Okulabula ku Butamanya n’Obusirusiru
1 Mutabani obanga weeyimirira muliraanwa wo,
ne weeyama okuyamba omuntu gw’otomanyi, oli mu katyabaga.
2Obanga weesibye n’ebigambo ggwe kennyini bye wayogera,
ng’ebigambo by’omu kamwa ko bikusibye,
3kino mwana wange ky’oba okola okusobola okwewonya,
kubanga kaakano oli mu buyinza bwa muliraanwa wo:
Yanguwa, ogende weetoowaze,
weegayirire muliraanwa wo.
4 Amaaso go togaganya kwebaka,
wadde ebikowe byo okubongoota.
5 Onunule obulamu bwo ng’empeewo bw’edduka okuva mu ngalo z’omuyizzi,
era ng’ekinyonyi, bwe kiva mu mutego gw’omutezi.
6 Yigira ku biwuka, mugayaavu ggwe;
fumiitiriza engeri gye bikolamu obiyigireko.
7Tebirina mukulembeze,
mukungu oba mufuzi yenna abikulembera,
8 kyokka byekuŋŋaanyiza emmere mu biseera eby’amakungula,
ne bitereka emmere mu biseera ebituufu mu mwaka.
9 Olituusa ddi okwebaka mugayaavu ggwe?
Oligolokoka ddi n’ova mu tulo two?
10 Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,
n’okufunya emikono okuwummulako,
11 obwavu bulikutuukako ng’omutemu,
era n’obwetaavu ng’omutemu.
Okulabula eri Omuntu Omutabuzitabuzi
12Omuntu ataliiko ky’agasa, omusajja omubi
agenda ayogera ebigambo ebitabulatabula,
13 agenda atemyatemya ku liiso,
nga bw’akuba ebigere
ate nga bw’asongasonga olunwe,
14 olw’omutima omukyamu, ateekateeka okukola ebibi,
bulijjo aleeta obutakkaanya mu bantu!
15 Noolwekyo okuzikirira kulimujjira mbagirawo,
mu kaseera buseera alibetentebwa awatali kuwona.
Okulabula ku Bibi Omusanvu
16Waliwo ebintu mukaaga Mukama by’akyawa,
weewaawo musanvu eby’omuzizo gy’ali.
17 Amaaso ag’amalala,
emimwa egirimba,
okuttira abantu obwereere;
18 omutima ogutegeka okukola ebibi,
ebigere ebyanguwa okukola ebibi,
19 obujulizi obw’obulimba,
n’omuntu aleeta obutakkaanya mu booluganda.
Okulabula Ku Bwenzi
20 Mwana wange nyweza ebiragiro bya kitaawo,
era togayaalirira kuyigiriza kwa maama wo.
21 Bisibenga ku mutima gwo ennaku zonna
era obisibe binywerere mu bulago bwo.
22Bijja kukuluŋŋamyanga buli gy’onoolaganga,
ne bw’onoobanga weebase binaakukuumanga,
ate ng’ozuukuse binaabanga naawe.
23 Kubanga amateeka ttabaaza,
era n’okuyigiriza kitangaala,
okukulabula olw’okukuluŋŋamya,
ly’ekkubo ery’obulamu,
24 okukuwonya omukazi ow’ebibi,
okukuggya mu kunyumiikiriza kw’omukazi omwenzi.
25Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo,
wadde okumukkiriza okukuwamba n’amaaso ge,
26 kubanga malaaya akussa ku muwendo ogugula omugaati,
era omukazi omwenzi anoonya kuzikiririza ddala bulamu bwo.
27Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye,
ebyambalo bye ne bitaggya?
28Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya,
ebigere bye ne bitasiriira?
29 Bwe kityo bwe kiri eri omusajja agenda ne muka muliraanwa we,
buli akwata ku mukazi ng’oyo talirema kubonerezebwa olw’ekibi kye.
30Abantu tebasekerera muntu bw’abba,
olw’okwewonya enjala.
31 Naye bwe bamukwata aba alina okuwa engassi ya mirundi musanvu;
ne bwe kiba nga kimumalako ebintu bye byonna eby’omu nju ye.
32 Naye buli ayenda ku mukazi talina magezi;
kubanga azikiririza ddala emmeeme ye ye.
33 Alifuna ebiwundu n’okunyoomebwa;
n’obuswavu tebulimusangulibwako.
34 Kubanga obuggya buleetera omusajja okuswakira,
era taliba na kisa n’akatono nga yeesasuza.
35 Talikkiriza mutango gwonna,
wadde okuwooyawooyezebwa enguzi ennene.