Zabbuli 73 (EEEE)
EKITABO III
Zabbuli 73–89
Zabbuli 73
Zabbuli ya Asafu.
1 Ddala Katonda mulungi eri Isirayiri
n’eri abo abalina omutima omulongoofu.
2Naye nze amagulu gange gaali kumpi okutagala
era n’ebigere byange okuseerera.
3 Kubanga nakwatirwa ab’amalala obuggya;
bwe nalaba ababi nga bagaggawala nnyo.
4Kubanga tebalina kibaluma;
emibiri gyabwe miramu era minyirivu.
5 Tebeeraliikirira kabi konna ng’abalala.
So tebalina kibabonyaabonya.
6 Amalala kyegavudde gabafuukira ng’omukuufu ogw’omu bulago,
n’obukambwe ne bubafuukira ekyambalo.
7 Bagezze n’amaaso gaabwe ne gazimbagatana;
balina bingi okusinga bye beetaaga.
8 Baduula era emboozi zaabwe zijjudde eby’okujooga.
Batiisatiisa abalala n’okubeeragirako.
9Emimwa gyabwe gyolekedde eggulu;
n’ennimi zaabwe zoogera eby’okwewaanawaana buli wantu.
10Abantu ba Katonda kyebava babakyukira
ne banywa amazzi mangi.
11Era ne beebuuza nti, “Katonda bino abimanyi atya?
Ali Waggulu Ennyo abitegeera?”
12 Aboonoonyi bwe bafaanana bwe batyo;
bulijjo babeera mu ddembe, nga beeyongera kugaggawala.
13 Ddala omutima gwange ngukuumidde bwereere obutayonoona,
n’engalo zange ne nzinaaba obutaba na musango.
14Naye mbonaabona obudde okuziba,
era buli nkya mbonerezebwa.
15Singa ŋŋamba nti njogere bwe nti,
nandibadde mukuusa eri omulembe guno ogw’abaana bo.
16 Bwe nafumiitiriza ntegeere ensonga eyo;
nakisanga nga kizibu nnyo,
17 okutuusa lwe nalaga mu watukuvu wa Katonda,
ne ntegeera enkomerero y’ababi.
18 Ddala obatadde mu bifo ebiseerera;
obasudde n’obafaafaaganya.
19 Nga bazikirizibwa mangu nga kutemya kikowe!
Entiisa n’ebamalirawo ddala!
20 Bali ng’omuntu azuukuse n’ategeera nti yaloose buloosi;
era naawe bw’otyo, Ayi Mukama,
bw’oligolokoka olinyooma embeera yaabwe omutali nsa.
21Omutima gwange bwe gwanyiikaala,
n’omwoyo gwange ne gujjula obubalagaze,
22 n’aggwaamu okutegeera ne nfuuka ataliiko kye mmanyi,
ne mba ng’ensolo obusolo mu maaso go.
23Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo;
gw’onkwata ku mukono gwange ogwa ddyo.
24 Mu kuteesa kwo onkulembera,
era olintuusa mu kitiibwa.
25 Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe?
Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe.
26 Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa;
naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange,
era ye wange ennaku zonna.
27 Kale laba, abo bonna abatakussaako mwoyo balizikirira;
kubanga bonna abatakwesiga obamalirawo ddala.
28 Naye nze kye nsinga okwetaaga kwe kubeera okumpi ne Katonda wange.
Ayi Mukama Katonda, nkufudde ekiddukiro kyange;
ndyoke ntegeezenga abantu bonna ebikolwa byo eby’ekyewuunyo.