Zabbuli 77 (EEEE)

Zabbuli 77
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.
1 Nnaakaabirira Katonda ambeere,
ddala nnaakaabirira Katonda nga musaba ampulire.
2 Bwe nnali mu nnaku, nanoonya Mukama,
ekiro kyonna ne ngolola emikono gyange obutakoowa;
emmeeme yange neegaana okusanyusibwa.
3 Nakujjukiranga, Ayi Katonda ne nsinda,
ne nfumiitiriza emmeeme yange n’ezirika.
4Tewaŋŋanya kwebaka; natawaanyizibwa nnyo ne sisobola kwogera.
5 Ne ndowooza ku biseera eby’edda,
ne nzijukira emyaka egyayita.
6Najjukiranga ennyimba zange ekiro,
ne nfumiitiriza nga bwe neebuuza mu mutima gwange nti:
7 “Mukama anaatusuuliranga ddala ennaku zonna
naataddayo kutulaga kisa kye?
8 Okwagala kwe okutaggwaawo kukomedde ddala?
Kye yasuubiza kibulidde ddala emirembe n’emirembe?
9 Katonda yeerabidde ekisa kye?
Asunguwalidde ddala ne yeggyako n’okusaasira kwe?”
10 Awo ne ndowooza nti, “Ebyo bye mmanyi
eby’emyaka emingi eby’omukono ogwa ddyo ogw’oyo Ali Waggulu Ennyo.”
11 Nnajjukiranga ebikolwa bya Mukama,
weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo eby’edda.
12Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna eby’amaanyi;
nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna.
13 Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu.
Tewali katonda yenkana Katonda waffe.
14Ggwe Katonda akola eby’amagero;
era amaanyi go ogalaga mu mawanga.
15 Wanunula abantu bo n’omukono gwo,
abazzukulu ba Yakobo ne Yusufu.
16 Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda;
amazzi bwe gaakulaba ne gatya,
n’obuziba ne bukankanira ddala.
17 Ebire byayiwa amazzi
ne bivaamu n’okubwatuka,
era n’obusaale bwo ne bubuna.
18 Eddoboozi lyo ery’okubwatuka lyawulirwa mu kikuŋŋunta
okumyansa kwo ne kumulisa ensi.
Ensi n’ekankana n’enyeenyezebwa.
19 Ekkubo lyo lyali mu nnyanja;
wayita mu mazzi amangi,
naye ebigere mwe walinnya tebyalabika.
20 Wakulembera abantu bo ng’ekisibo,
nga bali mu mikono gya Musa ne Alooni.

Topics in this chapter